Ebbugumu lyabadde ly’amaanyi olunaku olwaleero ku Mbuga y’e Ssaza e Kasangati mu kukuma Ekyoto ky’Amatikkira ga Ssaabasajja kabaka ag’emyaka 33.
Omugenyi Omukulu ku kyoto kino yabadde Oweek. Chotilda Nakatte, ng’ono eyayaniriziddwa Omwami w’e Ssaza Hajji Ahmed Matovu Magandazi, Omumyuka wa Kaggo Asooka Mw. Ronald Mpagi, Omukiise w’e Ssaza mu Lukiko lwa Buganda Oweek. Jane Francis Lukwago, Abaami ba Ggombolola okubadde Musaale Busukuma, Mut I Nangabo, Mumyuka Nakawa, Mut V Kawempe wammu n’Olukiiko lwa Kaggo olukulembeze.

Aboosi babadde bangi ddala era nga banyumiddwa obubaka okuva ew’Abasomesa okubadde Mw. Ssali Damascus, Omulezi w’e Ssaza Oweek. Nabukenya Christine, Omusawo Dr. Ndugga Frank saako n’Abalara bangi.
Ebisomeseddwaako byonna byesigamiziddwa kukuuma obuwangwa saako n’okwetangira endwadde eziva mu bukyaafu kati nga Ebola.

Kaggo yasanyukidde nnyo Amasomero agaweerezza Abaana mu nteekateeka eno, era nasiima Ssentebe w’Abavubuka mu Ssaza Omw. Muddu Thomas kko n’Abaweereza mu Ssaza ku mitendera egy’enjawulo abakoze obutassa mukka okusobozesa olwa leero. Ono akkatirizza Obubaka bw’Abasomesa era nakuutira Aboosi okufaayo okuwuliriza.
Ye Omugenyi Omukulu, Oweek. Chotilda Nakatte asiimye entegeka y’omukolo guno nategeeza nga bwegwongedde okujjayo ekitiibwa ky’Ekyoto mu Buganda. Ono ajjukizza Abantu ba Kabaka bonna ku ntekateeka z’Obwakabaka, omuli n’Amatikkira wiiki ejja, era nabasaba okezettaniranga.
Ebikujjuko bino byetabiddwaako Abantu ba Ssaabasajja okuva mu Kyaddondo, Abakulembeze, Amasomero, n’Abawereza bangi nnyo.
Wabula wadde ng’Ekyoto ekikulu mu Buganda kibadde ku Mbuga y’e Ssaza e Kasangati, ebyoto ku Mbuga za Ggombolola zonna okwetoolora e Ssaza bikumiddwa, era bingi ebikoleddwaayo.













