Ab’ekika ky’e Nseenene balongoosezza Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba

Ab’ekika ky’e Nseenene balongoosezza Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba
Spread the love

Katikilo we kika kye Nseenene omuttaka Kilonde Mulindwa Kiwuka Kajubi Paul, kulw’omukulu we kika kye Nseenene omutaka Kalibbala Nsozi akunze abazukulu bonna okukolanga bulungi bwa nsi buli lwakuna oluseyo mu mwezi ku nyanja ya Ssabasajja Kabaka mu Ndeeba, e Lubaga, Kampala.

Era Omutaka Kilonde yebaziza nnyo ekibiina Kya bika kuntiko mu Buganda kuntiko abazemu okukoreza omumuli gw’okugogola enyanja ya Ssabasajja Kabaka nokukubiriza ebika byonna okukorera awamu ,kubanga enyanja eyo kyabulambuzi mu buganda,ate kijukizo gyetuli.

Okuyonja kuno bagenda kukikola buli Lwakuna olusembayo mu mwezi okutumbula omwoyo gw’okuyonja abantu bonna.

languages image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *