Bya Hasan Zaki
Oluvanyuma lwa tiimu ya Gwanga Uganda, the Cranes okukola ebyafaayo nga yesogga oluzanya lwatiimu omunaana ezisembayo, entekateka zijisisinkanyiza na Senegal abalina ekikopo Kya CHAN.
Uganda yakulembedde ekibinja C Oluvanyuma lwokuzanya emipiira ena newangula ebiri, Neekubwa gumu olwo mugwokusalawo neremagana ne South Africa 3-3.
Yo Senegal, wadenga ye Nantamegwa we kikopo Kya African Nations Championship, teyasobodde kukulembera kibinji D.
Oluvanyuma lwomupiira ogwasembyeyo gwebazanye ne Sudan okugwa 0-0, kyalese nga Sudan ekulembede ekibinja ekyo olwo ate Senegal nemalira mukyokubiri.
Obutafananako Uganda, Senegal yakazanya emipiira esatu mu CHAN wa 2024, Oluvanyuma lwokubeera mukibinja omuli ttimu nnya zoka.
Mumipiira esatu, Senegal ewanguddeko gumu olwo nekola Amaliri gamirundi ebiri okusobola okukunganya obubonero obutaano bwerina.
Nga betegekera empaka za CHAN 2024, Uganda ne Senegal bayezanyamu era Uganda newangula ku goolo 2-0.
Uganda yakasisinkana Senegal Mumupiira gwokuvuganya emirundi 7 eranga Senegal yekyasinze okufuna obuwanguzi nemirundi 3, nebagwa Amaliri asatu olwo Uganda newangula gumu eranga gwegwoka ogwa CHAN gwebakesisinka nga gwagwa 1-0 Mu CHAN wa 2022.
Mumuzanyo emirala ejatiimu omunaana ezisembayo mu CHAN wa 2024, Kenya yakuzanya Madagascar, Tanzania ezanye Morocco olwo Algeria ezanye ne Sudan.
Emipiira jino jakuzanyibwa Kulwokutaano nga 22 ne nga 23 Ogwomunana era Ogwa Kenya noogwa Tanzania jejisookawo olwo Mutegesi munaabwe Uganda ajje munsiike ku Lwomukaaga.