Nga 4 Ogwomunana, Uganda yakyaziza omupiira Gwa CHAN 2024 Ogwasoose mweyakubiddwa Algeria goolo 3-0 Mumupiira Uganda.
Oluvanyu lwomupiira ogwo ogwazanyidwa mu kisaawe e Namboole,
Omukugu mukutegeka omupiira nobumanyirivi Yusuf Kyeyune Kyuni agambye nti Uganda erina okufuna ensamba enteketeke jesambamu omupiira okwewala okuyisibwa obubi nga olunaku lweggulo Algeria weyakoze.
Wabadde ayogera nabamawuli e Kololo aba Real Stars sports agency jebamuweredde engulu yobuwereza eya Lifetime Achievement award Professor Kyuni agambye, “Twalemeddwa okusoma obulunji omupiira, naye era ensamba yaffe erina okutekebwatekebwa munsamba jetusambamu omupiira tukiyingize mubazanyi okuva nga bakyali bato, jjo Algeria kyetusinze”

Kyuni eyayingira obawereze bwomupiira nga Omusambi nga azanyira ttimu nga Buikwe Redstar, City Cubs, Wandegeya Cooperative ne Express FC olwo oluvanyuma nafuuka Omutesitesi eranga yabukolera mu FUFA, SC Villa, Kampala District Football Associations namattiimu amalala.
Oluvanyuma lwokukubwa olunaku lweggulo, Uganda yakudamu okuzanya ku Lwokutaano nga 8 Ogwomunana nga ezannya Guinea mu kisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole.
Uganda eri mukawefube wokwejako ekikwa ekyempaka za CHAN zamirundi mukaaga zeyakazanyamu wabula nga teva mukibinja.
Kumulundi guno, Uganda eri mu kibinji C omuli Algeria, South Africa, Guinea ne Niger eranga Uganda okuyitawo yetaaga okugoba emipiira jayo ejibulayo mukibinja e Satu oba ebiri namaliri okufunayo omukisa.