Nga ebuula ennaku 9 okutandika empaka z’amawanga ga Africa, akakiiko akategesi mu ggwanga mu Uganda kalung’amya bannakyewa.
Sumayiya Huud Kiwanuka, yakulembera okusaba okukyaza CHAN wa 2024, yayogedde ku musomo ogubadde ku Lugogo Indoor Arena ku Lwokuna nga July 24: “Olwaleero, tutegese emisomo ebiri egy’okutendeka abantu abaasazeewo okukola nga bannakyewa mu CHAN 2024.
Tusazeewo okukozesa bannakyewa kubanga be bantu abagenda okukola emirimu gyabwe n’omukwano, okuva bwe kiri nti tunoonya abantu abalina obuntu bulamu eri abantu abajja okulaba emizannyo gya CHAN.” “Bagenda kuba balina okukola nga nga balabirirwa abakugu okuva mu CAF, era bagenda kuba bakola bawakisibwa ku mupiira ezenjawulo,” bwe yagasseeko.

Sumayiya ye mukungu wa FUFA avunaanyizibwa ku pulojekiti za FIFA forward Program mu Uganda, era atuula ne ku kakiiko akategeka CHAN ne AFCON nga Secretary wa Workforce and Volunteering committee wansi wa Justus Mugisha.
Okutendekebwa kuno kubaddemu emirundi ebiri, kumakya n’akawungeezi kibademu abantu 230.
Bannakyewa abatendekedwa olw’ebigendererwa by’okutambuza ebintu, okusembeza abagenyi, protocol, okuddukanya enkola yabanamawulire, n’okuweereza abawagizi.
Bannakyewa bano abatendekedwa bagenda kutekebwq mu bifo ebiragiddwa okutegekebwa CHAN 2024 mu Uganda okuli ebisaawe ne Hotels
Okutendekebwa kuno kwe kumu ku kulaga nti Uganda netegefu okutegeka empaka za CHAN 2024.
Ttiimu eziwera ttaano okuli Uganda, Algeria, South Africa, Niger ne Guinea zaateekebwa mu kibinja C era nga zigenda kuzannya emipiira gyazo gyonna egy’ekibinja mu kisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole.
Uganda yeemu kumawanga agagenda okukyaza empaka zino, ezitandika nga August 2 okutuuka nga 31, nga Bali wamu ne Kenya ne Tanzania wansi w’omuggo gwa PAMOJA.
Amukago gwe gumu gukozesebwa mu kutegeka empaka za Africa Cup of Nations 2027, mumawanga ge gamu.