PAMOJA etadewo embeera okusobozesa abantu okulaba emipiira ja CHAN kubisale ebisoboka

PAMOJA etadewo embeera okusobozesa abantu okulaba emipiira ja CHAN kubisale ebisoboka
Spread the love

Ekisinde ekyegatidwamu amawanga ga obuvanjuba kitadewo embeera okusobozasa abantu okulaba emipiira ja CHAN kubisale ebisoboka.

Mulukungana lwabanamawuli olutegekedwa nga 14 July ku Cooper Chimney e Lugogo akulira akakiiko kebyemuliziganya mukutegeka CHAN Denis Mugimba ategezeze kubisale ” twafunye okulungamizibwa okuva mu PAMOJA ticket zemipiira ja CHAN zitundibwa ku Dollar 1 ku mutendera ogusooka, Dollar 2 kumutendera ogwokubiri ne Dollar 3 kumutendera ogwokusa.

Ayangedeko nagamba nti”Kino PAMOJA ekikola okulaba nga abawagiza bajjumbira okulaba emipiira ja CHAN nga ate tebanyigirizidwa”

Era ategezeza nti “Gavument ya Uganda teyasaba kutegeka mpaka za CHAN neza AFCON nga erubirira zikolamu ssente wabula yayagala kumanyisa bantu Gwanga Uganda”

Gavument ya Uganda etadde mukutekateka empaka Za CHAN ne AFCON esimbi eziwerera ddala obukadde bwa dollar 30.

Mubimu kubikulu ebitekedwamu ssente kwekuli okutekateka ebisawe ebizanyirwamu nebitendekerwamu, etambula munda mu Gwanga era emotoka za Gavument eziwera 100 zitegekedwa okukola omulimu ogwo waddenga nabavuga emotoka ezobwananyi bakyetagibwa okwegatta ku mutoka za Gavument 100.

Mubirala mulimu okupangisa Hotels musanvu okuli Kampala Serena, Hilton hotel, Sheraton by 4 points, Skys Hotel Naguru nendala saako namalwaliro okuli Mulago, Kisubi, Entebbe ne Nakasero

Omukola gubadelo Abakungu abatuula ku kakiiko kebyemuliziganya oku omumyaka womukulembe wa kakiiko Rogers Mulindwa, abalala ye William Blick, Mark Namanya ne Ahmed Hussein.

languages image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *