Nara Promotions banjudde olulwana lwa Sweet Science reloaded

Nara Promotions banjudde olulwana lwa Sweet Science reloaded
Spread the love

Abakugu mukukulakulanya omuzanyo gwebikondo ebyemsimbi aba Nara Promotions benjudde olulwana olutuumidwa Sweet Science Reloaded olwokuberayo nga 2 Ogwomunana.

Okutonza Olulwana luno kubadewo Kulwokusatu nga 16 Ogwomusanvu ku Club Obligato ekifo ekikakasidwa okutegekerwamu olulwana lwa Sweet Science Reloaded.

Abazanyi bebikonde abawerera ddala 30 bebakakasindwa okuzanya mululwana lwa Sweet Science Reloaded era nga enwana ezikulembedemu ziri bbiri okuli Wasswa Lubega amanyidwanga Bawa ajakuzanya ne Yasin Kakungulu mululwana lwa Super Middleweight.

Olulwana olulala olukulembezedwa lwelwa Sulaiman Masaalo amanyidwanga K.O Busungu anga azanya Philly Musene mu Super Lightweight.

Abazanyi abalala abasubirwa okulwana mukiro Kya Sweet Science Reloaded mwemuli Farahati Manirora, Hassan Musuza, Isma Wizer, Coach Ivo, Haruna Sematire, Elijah Kakaire, Ignatius Onyango ne Michael Mutumba.

Nga olulwana telunatuuka, nga 31 Ogwomusanvu wajakubaawo okwekebejja ebyobulamu bwabazanyi atenga 1 Ogwomunana wajakubaawo okupima obuzito bwabazanyi.

Okuyingira mululwana lwa Sweet Science Reloaded, Omutesitesi Allan Busuulwa ategezeza kubisale bya ticket “Abawanguzi bomuzanyo gwebikonde nga Nara Promotions tubanjulira oluzanya lwa Sweet Science Reloaded, mbategeeza nti olulwana lujakubaawo nga 2 Ogwomunana era nga okuyingira ticket esokerwako ya 20,000/= eyabakungu ye 50,000/=
atenga emeeza ya 500,000/=”

Okutungoza oluzanya luno, Omukulembeza wa Uganda Boxing Federation (UBF) Moses Muhangi abadewo awamu nabakugu abenjawulo mumizanyo gwebikondo.

sports image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *