Minister omubeezi owa obutonde bw’abantu ne nnono Peace Mutuuzo alangiridde entekateeka minisitule ezenjawulo mu kulwanyisa ebizibu ebisoomooza embeera z’amaka mu Uganda.
Bw’abadde ku Uganda Media Center enkya, Mukalasa, Mayanzi waleero nga 30 Ogwomusanvu anyonyodde bwati mu bigambo bye, “Embeera z’amaka zikyuseemu nnyo okuva ku ze twakulira, amaka gaabanga family nnene naye kati abantu ne basalawo okubeera bokka.
Era abantu bangi basazeewo okusuula obuvunaanyizibwa bwabwe kyokka kireeteddwa ebbula ly’ebikozesebwa mu maka n’obutabanguko mu maka.
Bino era bireese endwadde z’emitwe okweyongera ate nga n’abalala bafiiriddwa obulamu.”

Oluvannyuma lw’embeera eyongera okukyankalana, Minista ayanjudde entekateeka y’azi minisitule awamu n’ebitongole bya gavumenti okulaba nga embeera eddizibwa mu nteeko, “nga minisitule zegattira wamu zivuddeyo nga buli minisitule eyitira mu buvunaanyizibwa bwayo, era Minisitule ya Land nga yakuzimba amayumba agasobola okukolerwamu amaka nga gali ku bisaale ebisoboka, UNEB yakwongera omutindo mu byenjigiriza n’okwongera amasomero agali ku bisaale ebisoboka sso nga n’ebitongole ebirala.”
Mu ngeri yeemu Minisita ategeezezza, “ababazi baamateeka bakwongera okunyweza amateeka agaziyiza obutabanguko mu maka wakati mu kulubirira okuzaawo embeera y’amaka esaanidde.
Bino bizze nga Uganda Yegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’amaka era nga omukolo guno Uganda egutegekedde ku Serena Hotel mu kibuga Kampala.