Oluvanyuma lwa Ttiimu ye Ssaza Mawokota okumala emipiira ena nga tewangula abakulembeze ba Ttiimu basazewo nebasazamu enkolagana yattiimu eno nomutendesi David Mutono Katono wamu nabamyukabe bonna.
Mawokota mukibunja Masengere mweri eri mukifo Kyokusatu nobubonero Mwenda bweyakanganya okuva Mumipiira musanvu.
Mumupiira ogwasembyeyo Mawokota yakubidwa Buweekula ku goolo 1-0 okuweza emipiira ena okuva lweyakubwa Bugerere ku goolo 1-0 nga tewangedeemu.
Wakati wemipiira jekubidwa, Mawokota ekoze amaliri emirundi ebiri nga Gombi jibadewo nga ezanya ne Kyadondo era nga mubanga erymipiira ena Mawokota teteebyemu.
Wegobedde Omutendesi, nga emipiira jonna jezanyidde kubugenyi nga tewanguddemu era nga teteebyemu goolo yona waddenga esatu jezanyidde ewaka egobyako ebiri mwetebedde goolo taano namaliri ga 0-0.
Mutono sizoni ewedde yatuusa Kyaggwe mu luzanya lwakamalirizo jeyakubitwa Buddu 1-0 eyatendekebwa Simon Dungu Dunga.
Okugombwa kwa Mutono kitegeeza nti Abatendesi abaali mu luzanya lwakamalirizo olwe mpaka zamasaza ga Buganda bombi sizoni ewedde omulundi guno tebinabatambulira Bulunji era nga munne Simon Dungu (Dunga) naye yagwobwa dda e Gomba waddenga yadamu nafuna omulimu e Bulemeezi.
Wetwogerera bino nga Mawokota eri munteseganya ezokufuna Omutendesi omulala era nga kigambibwa Omutendesi wa Butambala Paul Kiwanuka yomu kubetagibwa.