Kibuli SS Yefuze omupiira nga ewandula Kololo SS mu FUFA TV Cup ku luzanya lwa team 32

Kibuli SS Yefuze omupiira nga ewandula Kololo SS mu FUFA TV Cup ku luzanya lwa team 32
Spread the love

Bya Hassan Zaki

Kibuli SS 3-0 Kololo SS (agg 4-0)

Kibuli SS yayefuze omupiira edakiika zino webabade mugwodingana ne Kololo SS mumpaka za FUFA TV Cup ku luzanya lwa team 32.

Omupiira gwazanyidwa ku Somero lya Kibuli SS kulwomukaaga nga 2 Ogwomunana eranga omuzanyi Devis Nsubuga yamu kubatadewo omutindo nga ateeba goolo bbiri ezimitwe okugatta ku goolo ya David Wacha era nga goolo zona zaatebedwa mukitundu ekisooka.

Mubazanyi abalala aboleseza omutindo omusukulumu mubademu Walidi Barigye, Ashiraf Musa ne Ramadhan Matovu.

Muluzanya Olwasooka, Kibuli SS yakyalira Kololo SS nga kumulundi guno Kibuli SS yeyakyaziza okufundikira nga egobedde ewaka nekubugenyi.

Omuzanyi Isaac Muwonge, yeyateeba goolo yoka eyali muluzanya Olwasooka okuwa Kibuli SS omusinji omugumu ogubanguyiriza okwesogga Oluzanya lwa Ttiimu 16.

Oluvanyuma lwomupiira guno omumyuka womutendesi wassomemero lya Kibuli SS, Hassan Ttembo Insingoma. ategezeza
“Tuli basanyufu nti abalenzi baffe bakozeseza obuvumu nebatutuusa ku luzanya lwa ttiimu 16, omwaka Oguwedde gwalimundi gwaffe ogwasooka okuzanya FUFA TV cup, nga tugobede kubugenyi ku Old Kampala bajja nebatukubira wano netuswala. kumulundi guno abalenzi babadde bawuliriza okuviirada kumupiira gwetwasooka nga tuzanya Old Kampala eyatujamu omwaka Oguwedde.

ayangeddeko nti “nga tugenda e Gulu tulina esuubi lyamaanyi nti tugenda kuweesa abawagizi baffe ekitiibwa wamu nokukuuma ekitiibwa Kya Kibuli SS kuba lyerimu kumasomero gakirimaanyi mumuzannyo gwomupiira”

Ye atendeka Kololo SS Bruno Ssegirinya naye agambye. “Batukubye olwokuba batusingako obumanyirivu, omutendera gubadde gwawagulumuko era omutindo gwetutadewo e
gutuwa esuubi nti omulundi ogudako tulina wetwongerezaako, abaana baffe bafunye omukisa okuzanya tokutegeera omupiira gwokuvuganya wegutambula.

Twebaza FUFA okuleeta omukisa guno ate netekako nokuyambako nebikozesebwa ebimu nga emijoozi nemipiira ejizanyibwa, ffe nga Kololo SS kituwa omukisa okudamu okwedabulula mumuzanyo gwomupiira era tugenda kikolerera okulaba nga tuza Kololo SS weyali emanyidwa”

Mukutuuka ku Luzanya olwa Ttiimu e 16, Kibuli yegasse ku Mengo SS eyasoose okulwesoggo weyawandudde Namilyango College nga 1 Ogwomunaana, Kako SS naye yalwesozze nga ewandulamu Gombe SS jeyakubidde kubugenyi e Butambala 2-1 olwo kumugatte Kako SS newangula 3-1.

Ttiimu zona ezigenda okubeera mu Ttiimu 16 ezisembayo, zakukunganira ku Somero lya St Joseph’s college Layibi ebisangibwa e Gulu jigenda okuzanyi empaka zino okutuusa nga omuwanguzi wa Season eno eyokusatu mubyafayo byekikopo kino afunidwa eranga kyakubaawo omwezi gwomwenda.

sports image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *