Bya Zaki Hasan Sendija
Omutendesi Wa Ttiimu ya NEC FC, Hussein Mbalangu alaze obusiimu aba Local Football Appreciations wabavudeyo nebamuwa engule yomutendesi womupiira omusajja asinga mu Uganda.
Mbalangu wabadde ayogerako nomusasi waffe ategezeza nti,”Ndiwamukisa okubeera omu kubawanguzi, kindaze nti byenkola abantu babiraba era babisiima, LFA elaze omutima omulunji okusiima buli Alina ettofaali lyateeka kumupiira gwa Uganda,”

Mbalangu nga yemutendesi wa ttiimu ya NEC FC okumala sezoni ebbiri ezisembyeyo, asobodde okusitula tiimu eno eyamuweebwa nga yakasumusibwa okuva mu Big League okujja mu Startimes Uganda Premier league nga yajiteeka mu kifo ekyomulaaga mu 2023-2024 atenga sizoni ewedde yajitadde mukifo ekyokubiri mu liigi yababinywera.

Sizoni ewedde, NEC FC okumalira mukifo ekyokubiri, kyajiwadde omukisa ogwokuzanya mumpaka za ma kilaabu amawanguzi mu Africa ezomutendera ogwokubiri eza CAF Confederations cup.
Mbalangu wabadde ayogerako kunsonga eyo ategezeza, “Twategera dda nti tuli bakuzanya mumpakazino, ekirubirirwa kuzizanyamu era tukole bulunji”
Mu Kusiimibwa okwaliyo nga Lumu Ogwomunaana, Mbalangu yali omu kubawanguzi nga mubawanguzi abalala mwalimu abazanyi nabatendesi abebikula byombi, Amasomero, amatiimu, saako nebannamawulire abayawulwamu okusinziira mubukugu bwabwe.
Guno gwemulundi ogusoose bannafe aba Location Football Appreciations okuvaayo nentekateeka efananako bweti eyokusiima abawereza bomupiira mu biti ebyemjawulo.
