Bya Zaki-Hasan Sendija
Nga 06-08-2025
Ekisaakaate Kya Nnabagereka ekyomulundi ogwe 19 kitongezeddwa olwaleero nomukolo ogutegekedwa mubimuli bya Bulange e Mengo nga 6 Ogwomunana 2025 era nga kyakubeerawo wakati wanga 3 ne 17 Gatonnya omwaka ogujja gu 2026.
Minister wabavubuka ebyemizanyo nebitone Robert Sserwanga yakikiridde Maama wa Buganda Nnabagereka Sylvia Najjinda kulwa Nnabagereka foundation.
Mububaka Bwa Minister Sserwanga Alabudde abazadde okwewala okukola ebinyigiriza obwongo bwabaama ekibaviirako okufuna okwenyamira “Abaana bayisibwe nga baana, abaana baweebwe obudde obumala okuwumula nga balagirwa emirimu emisamusaamu, abaana abagenda okujja mukisaakaate kyomwaka guno bagenda kutekeebwatekebwa mungeri yokulwanyisa okukalubirizibwa mubwongo kuba edagala lyakyo erisinga liva kumuntu oyo kenyini Alina ekizibu ekyo”
Ekisaakaate Kya 2026 Kigenda kutegekebwa ku Ssomero lya Hormisdallen e Gayaza eranga akulira abasomesa ku Ssomero eryo Godfrey Kalyango Nickson ayolesezza obusiimu olwokubawa omukisa okukyaza ekisaakaate omulundi ogwokubiri, Ffe aba Hormisdallen naddala ku Ttabi lye Gayaza twebaza Maama Nnabagereka okutwongera omukisa gwokutegeka ekisaakaate omulundi ogwokubiri, kitegeeza nti omulundi ogwasooka twetegeka bulunji”
Omulundi ogwasooka Hormisdallen e Gayaza yakyaza ekisaakaate mu mwaka 2024 atenga omulundi guno kyakubeerayo wakati wa nga 3 ne 17 Gatonnya.
Kalyango ayogedeko nagamba nti “ekisaakaate, mukisa munene nyo eri Uganda ne Buganda, kubanga kiteeka ensa mubaana nebavaamu abantu abobuvunanyizibwa
, ate naffe nga abakikyaza tufuna omukisa nti ababadde tebamanyi Somero lyaffe jerisangibwa bafuna okumanyaayo”
Ye omuwereza mukitongole ki National Drugs Authority mu yafeesi enkwanaganya yabantu Kalungi Fred Kabuye akubirizza abazadde okukuza abaana nga batya Katonga, nga balina nebirubirirwa mubulamu bwomumaaso,”nga omulamwa gwo mulundi guno weguli nti gulubiridde okutukateeka abaana okwewumuza mubwongo, abazadde ekikulu nyo okuliza abaana mu diini, abaana abatya katonda bebasinga okuba ne mpisa, era abazadde kyabuvunanyizibwa okukuza abaana nga obateekateeka okubeera nebigendererwa ebyomumaaso, abaana banji bafunye ebizibu ne ndwadde zobwongo lwakukozesa biragala lagala naye omwana alina ekigendererwa okugeza nti ayagala kubeera musawo kimwewaza okubikozesa, ate era abaana Mubategeeza nti nomwonge simulunji gusobola okwonoona obwongo bwomuntu”.
Ye Michael Kironde nga ye Ssenkulu wa masomero ga St Janan Lawumu agamu ku gazze gakyaza ekisaakaate, asubiza ssente obukadde Kumi obwabuli mwaka okusobola okulaba nga entekateeka ye Ekisaakaate Kya Nnabagereka eyongera okugenda mumaaso.