CHAN 2024: LOC Yetonze olwebbula lyebyokulya, ebyokunywa saako enyingira nebyentuula ebitaabadde birunji

CHAN 2024: LOC Yetonze olwebbula lyebyokulya, ebyokunywa saako enyingira nebyentuula ebitaabadde birunji
Spread the love

Nga Uganda ekyaza omupiira gwa CHAN 2024 ogwasoose mweyakubidwa Algeria 3-0, Banna Uganda ababade mu kisaawe e Namboole basanze okusomozebwa olwobutabaawo byakulya ekunywa saako nokusomozebwa okwamaanyi mukuyingira mukisaawe wammu nokutuula kwesanga nga ababadde ne ticket zokumitimbagano nababadde nezobuliwo besanze nga endagiriro yokutuuka efanagana mu namba zobutebe.

Kakati mu Ttuntu lya leero, Omwogezi wakakiiko ka Local organizing Committee nga kekayambako CAF mukutegeka empa za CHAN, Mark Namanya wabadde ayogerako nebanamawulire abamusanze ku Office zakakiiko akategesi e Lugogo, akiriza okusomozebwa banna Uganda kwebayiseemu era nasaba kulwakakiiko okusonyiyibwa era nasubiza nti tekugenda kudamu kubaawo “tekikola makulu kwegaana wabula wetwakirabye enkya yaleero tufunyemu olukiiko nabakungu ba CAF netukiriziganya okubigonjoola, Mumupiira gwetuzaako kulwokutaano nga 8 Ogwomunana ebyokulya nebyokunywa bigenda kubaayo ate kumiwendo ejisoboka kuba kino sikyakukolamu magoba”

Mugeri yeemu waliwo abantu abansanze obuzibu mukuyingira, Namanya yetonze kulwa okakiiko akategesi aka Uganda “Twetondera obafunye okukalubirizibwa okwenjawulo, nti ekigendererwa kyaffe kulaba nga buli muntu alina ticket ayingira bulunji adeyo nga musanyufu, naye tuli mukuyiga kubanga guno gwemulundi ogusoose okutegeka omupiira ekikula kino naye buli kyabadewo ekyo twakiyize era tekigenda kudamu kubaawo”

Kulwokutaano Uganda agenda kuzanya omupiira gwayo ogwokubiri mumpaka zino eranga eggwanga lya Guinea ku Saawa bibiri ezeekiro ku Kisaawe e Namboole.

languages image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *