Buddu ewonye okukubira omwayo bwekoze amaliri ne Busujju muza Masaza ga Buganda

Buddu ewonye okukubira omwayo bwekoze amaliri ne Busujju muza Masaza ga Buganda
Spread the love

Mumpaka za Masaza ga Buganda, Olunaku lwaleero nga 19 Ogwomusanvu, Buddu ewonye okukubira omwayo bwekoze amaliri ne Busujju.

Omuzanyi Mike Waraga yamuzanyi abatasiza bwateebye goolo mudakiika e taano ezongedwamu.

Busujju bebasose okuteeba mu dakiika ye 89 ng bayitira mu muzanyi Isham Kibirige asaze omupiira ogulemeredde omwakwasi wa goolo ya Buddu Marvin Ssebirungo.

Oluvanyuma lwo Mupiira Omuteebi wa goolo ya Buddu Waraga asubiza abawagizi nti kati atandise balindirire ma goolo malala “Ndimusanyu olwa’kabonero ketufunye, ndimusanyufu olwa goolo jenteebye kubanga yesoose sizoni eno, era ntegeeza abawagizi baffe nti kati ntandise okuteeba goolo zigenda kweyongerako era jetulaga watangaavu”

At ye atebedde Busujju Kibirige agambye nti “Sitegedde Ngeri jebatuteeebyemu naye era akabonero kalunji jetuli, Buddu byetukoze naffe tujirinze ewaffe, kuba kuluno Twagala kikopo”

Omumyuka Omwami we Ssaza Buddu Pokino Dicky Muwanga oluwonye okukubwa nawaga “Mbategeeza nti ttiimu yaffe yamaanyi, buntu butono nyo obutatambudde bulunji era nga tuyitira mubatendesi baffe nabaakakiiko abakulembera Ttiimu tugenda kubutereeza era betuzaako mugenda kugwa ku kyookya”

Mungeri yeemu, Eyegwanyiza okukirira abantu be bendobendo lya Nnyendo Mukungwe Lubowa Ssebina Gyaviira awadeyo Ttiimu obukadde bibiri era nawera mumaaso gomumyuka wa Pokino okwongera okutambulira awamu ne Ttiimu mulutabaalo lwerimu”.

Kakati Busujju yakulembedde ekibinja Bulange ku lwa goolo zeyakateeba enyinji 5 olubvanyuma lwokusibagana ne Buddu kububonero ne goolo ezifikawo kuzebateebye nezibateebedwa.

Ssese yeyokusatu ku bubonero 6, Buluuli yakuna kububonero 5, Busiro yakutaano nobubonero 4 atenga Gomba yesembye nga erina akabonero kamu.

Bulange Group standings

Mubibinja ebiralala namwo mubademu emipiira eranga mukibinja Masengere, Bugerere ekubye Mawokota 1-0 goolo etebedwa Henry Wamala.

Bulemeezi okufananako Bugerere bafunye obuwanguzi obusooka nga bakuba Buvuma 1-0 etebedwa Benon Vianny Kigenyi.

Mukibinja Muganzirwazza, Ssingo nayo efunye obuwanguzi obusooka nga ekuba Kooki 3-0 eziteebedwa Elvis Ssekajugo, Jackson Ssembatya ne Edrine Junior Owachgiu.

Ssingo Ssaza celebrations

Kyaggwe egudde maliri ne Butambala 1-1 nga Calvin Peter Emayo atebedde Kyaggwe atenga Juma Kasozi atebedde Butambala.

Olunaku lwegulo, Buweekula yalumbye Kyadondo omwayo nejikuba 2-1, Ssese yakubye Busiro 2-1 atenga Kabula yagudde maliri 0-0 ne Mawogola.

sports image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *