Nga empaka za CHAN 2024 zisuliridde okutandiika, Abebyekwerinda mu Ggwanga Uganda baweere okulabula abo abasubira okukola efujjo ery’enjawulo nga eggwanga lyattu likyazizza empaka zino omulundi ogusokedde ddala.
Mu lukungana lw’abanamawulire olutuziddwa Enkya lya leero nga 30 Ogwomusanvu ku Uganda Media Center, Omwogezi wa Uganda Police Force, Assistant Commissioner of Police Rusoke Kituuma yawadde okulabula kuno.
Mu bubaka bw’awadde ategeezezza. “Mbategeeza nti tulina abagenyi abali mu kuyingira mu Ggwanga Uganda, ffe abe bitongole by’ebyokwerinda tulina obuvunanyizibwa okulemesa obumenyi bw’amateeka, era Mbategeeza nti tubadde twetegekera embeera eno, tuli bulindaala naye era n’omuntu ssekinoomu tukutegeeza ku bamanyi baamateeka ab’enjawulo.
Mu bano mulimu abafere be basinga okwetaaga okwetereza kuba bafera mu bintu eby’enjawulo omuli Tickets, okuleeta deal ezifuna nga Zaabu, n’engeri endala nnyinji, ntegeeza abantu baffe omuli banna Uganda n’abagenyi okukola ekyo kyokka ekibaleeta e Namboole”
N’ebibinja by’abavubuka ebikozesa amaanyi n’effujjo okutwala ebintu by’abantu “Eggaali” temunda kuzivuga.
Mu ngeri yeemu ACP Kituuma alabudde abantu ku ttamiiro nga bazze okulaba emipiira e Namboole. “Omwenge guleeta ebibi binji, era ebibi ebisinga byekuusa ku ttamiiro, era nga ebimu bikosa abantu abalala ate ebimu bikosa omuntu oyo yennyini atamidde nga bisobola n’okuteeka obulamu bwe mu matigga”
Nga alungamya abamawulire, yayongeddeko okulabula abambala enkunamyo naddala abakazi. “Nga mujja okulaba emipiira mbakubiriza okwambala obulungi temukunama, nadala “Abakazi abambala embi evaako ebizibu bingi, jemuli.”
Mugeri yeemu Omwegezi wa Police y’ebidduka by’okunguudo Michael Kananura awadde okulungamya, alungamizza ku nguudo ez’okukozesebwa mu Mpaka za CHAN 2024.
Bwati bwategeezezza, “Nga eggwanga likyaza emipiira ja CHAN 2024 gisuubirwa okubaawo wakati wa nga 2 ne 29 Ogwomunana wano mu Uganda, ntegeeza banna Uganda nti wasuubirwa okubeerawo enkyukakyuka y’ebyentambula ku nguudo ezimu, omuli olwa Entebbe Express okutuuka e Busega Ku nkulungo, Okuva ku nkulungo y’okubiri okutuuka ku Yusuuf Lule, oluguudo oluva e Busega okugenda e Wankulukuku Stadium, oluguudo Yusuufu Lule okugenda mpaka Ku Kadiba stadium, oluguudo Kira Road okudda e Bukoto, Okuva Ku nkulungo y’oku Kaleerwe okutuuka e Namboole, okuva ku bitaala bya Jinja Road mpaka Kyambogo.
Okuva e Naalya okutuuka e Seeta, ebimotoka ebinene byakukozesa oluguudo oluva e Kaleerwe ku Round olugenda mpaka Mukono, ze zimu ku nguudo ezinokoddwayo.
Amawanga ensi eziwerera ddala taano zezigenda okubeera mu Uganda oku Niger eyatuuse mu Gwanga olunaku lwegulo atenga amawanga amalala ye Algeria, South Africa, Guinea ne banyinjmu aba Uganda.