By Hassan Zaki
Nga olulwana lwa Sweet Science Reloaded lutuuse, abazannyi 34 bapimiddwa okuzannya mu lulwana olugenda okubeerawo olunaku lw’enkya nga 2 Ogwomunaana.
Okupima lwabazannyi kubaddewo mu muttuntu lwaleero ku Lwokutaano nga 1 Ogwomunaana ku Club Obligato olulwana gye lugenda okubeera.
Abazannyi abapimiddwa omuli n’omuzannyi Richard Kasujja agenda okuzannya oluzannya lwe olw’ebikonde by’ensimbi ne John Egesa.
Nga ayogera ku lunya lw’edda lwa Pulofeesa olusoose, Kasujja ategeezezza “nga omuzannyo gw’ebikonde kati gwe gwakyuka nti kati guwa omukisa abazannyi okuzannya ebikonde eby’abayiga wamu n’eby’ensimbi, ntwala omukisa guno era sivudde mu mibikonde by’abayiga wabula ngenda kubikwasaganya wamu”
Ndi mu malirivu era enkya nga nzigulawo essuula empya, gwe nzannya yetegekere akaseera akazibu.
Ye awemye omutwe mu kutegeka ennwana z’enkya kulwa NARA Promotions, Allan Busuulwa, alambuludde ku nteekateeka nga we ziyimiridde “Ntegeeza abanyumirwa omuzannyo gw’ebikonde nti Street Science Reloaded ayangedde, era leero tupimye abazannyi 34 agenda okuzannya, bonna bali mu mbeera nnungi era lunaku lwakya, emiryango giggulwawo ssaawa kkumi ez’olweggulo, olulwana olusooka lwakuba ssaawa kkumi n’emu olwo tusobole okubaawo nga obudde bukyali”
Ennwana bwe ziti bwe zisengekeddwa.
1. LUBEGA WASSWA VS YASIN KAKUNGULU (CRUISER WEIGHT 8RDS)
2. SULIAMAN MUSAALO VS PHILLY MUSENE (MIDDLE WEIGHT 8RDS)
3. KAKAIRE ELIJAH to ID1328706 VS KISUBI BASHIRE ID496690 (WELTER WEIGHT 6RDS)
4. MUTUMBA MICHEAL VS TAAFU ODOYI (MIDDLE WEIGHT 8RDS)
5. KAYIWA JAMIL VS FAHIM MUBIRU (S/FEATHER WEIGHT 6RDS)
6. ISMA MUYINGO VS KISUBI BASHIR (S/LIGHT WEIGHT 6RDS)
7. ONYANGO IGNATIOUS VS OKELLO SAMUEL (CRUSIER WEIGHT 6RDS)
8. ZUBAIRI NADHOMIE VS JOHN HENRY KATALA (S/WELTER WEIGHT 6RD)
9. HALUNA SEMATIRE VS JOHNSON CHARLES (MIDDLE WEIGHT 6RDS)
10. OKIRU YASIN VS JIMMY NSAMBA (S/LIGHT WEIGHT 6RDS)
11. SSEKANYO BASHIR VS TOMUSANGE NICHOLAS ID1140023 (S/LIGHT WEIGHT 4RDS)
12. WANDERA RONALD VS BILONGO MASALA (CRUSIER WEIGHT 6RDS)
13. AARON OUMA VS ADDUL KASOZI (S/FEATHER WEIGHT 6RDS)
14. KASUJJA RICHARD VS JOHN EGESA (S/MIDDLE WEIGHT 4RDS)
15. FARAHATI MANILORA VS KAPELA YASARI TZ (S/LIGHT WEIGHT
8RDS)
16. KEZAALA SADAM DEBUTE VS (S/WELTER WEIGHT 4RDS)
17. ABDULAZIZ RAMA VS MALE IVAN (HEAVY WEIGHT 6RDS)