Abayizi abawerera ddala 40 okuva muzi Ssematendekero ezawaggulu 10 bebasindikidwa mu Gwanga lya Germany okwetaba mumizanyo jazi Ssematendekero ezawaggulu.
Kumulolo gwokubasibula ogubadde ki Cooper Chimney akawungezi ka Nga 14 Ogwomusanvu, gukulidwa Ssabawadiisi we kibiina ekikulembe emizanyo mu Gwanga kulwa Gavument ya Uganda Dr Patrick Barnard Ogwel.
Bwabadde ayogerako eri abayizi, abalagidde okubeera bakitunzi be Gwanga awomu nokulikikirira obulunji “Mu agenda mumizanyo jino kukirira Uganda si Ssematendekero zamwe, yensonga lwaki ndiwano, nga tugezaako okukulakulanya ebyobulambunzi nga tuyita mubyemizanyo, Gavument ebasindika mugende mukole emikwano awamu nokujagazisa okukyala mu Uganda”
Abayizi bavumu zi Ssematendekero okuli Makerere University, Kyambogo, Gulu, Kampala University nendala era nga bakwetaba mumizanyo omuli Okuwuga, Okudduka, tena woku kyoya, kumuddo, neku bbumba.
Abayizi nakusitula okuva mu Gwanga olunaku lwakubiri nga 15 Ogwomusanvu olwo boolekere ebibuga okuli Berlin, Bochum Duisburg nebirala ebisangibwa mu Gwanga lya Germany.
Emizanyo jino jatandika mu 1973, jibeerawo buli luvanyuma lwa myaka ebiri era nga guno mulundi gwa 32 era Uganda eze ewamgula emidaali okuviira ddala mu mpaka zomwaka gwa 2003.