Mukasa ayogedde ekyabatandisaawo Fortebet Real Stars sports monthly awards.

Mukasa ayogedde ekyabatandisaawo Fortebet Real Stars sports monthly awards.
Spread the love

Bya Zaki Hasan Sendija

Nga Fortebet Real Stars Sports Awards zesemberera okuweza emyaka musanvu kosokedde zitandika mu mugwomwenda gwa 2018, Omuyima mukuzitandi Isac Mukasa avudeeyo nayogera ekigendererwa ekikulu mukutegeka engule zino.

Kumulolo okwategekeddwa kulwokubiri lwa Wiiki eno nga 5 Ogwomunaana okusiima Abazanyi abaasukulumye kubanaabwe, Mukasa yategezezza,”Abantu banji abaawerezza the ebyemizannyo naye nga kati tewali kikakasa buwereza bwabwe, okugeza nga Jackson Mayanja yasigala kweyogerako bweyogezi saako naabo abamulabako, naye singa bagwawo omukululogwe guba gukomye awo, ate nekirara abyogera bwogezi naye tewali kirumiriza byeyakola, kati ffe nga tugaba engule zino tusuubira nti zirikola obujulizi nga abantu bano tebakyasobola kwongera kuwereza okubeera nomukululo omunywevu”

Mubazannyi abaasiimidwa kwabaddeko Frank Kiwalabye omukubi webitonde eranga yafunye okusiimibwa olwomusipi gwensi Yona gweyawangula mugwomusanvu nga akuba omu Tanzania Karimu Kasairo mu World Super Bantamweight.

Kiwalabye okulangirirwanga nga omuzanyi webikonde eyasinga mugwomusanvu, yavuganyiza nomuzanyi Aziz Rigo saako nomukyala Catherine Nanziri.

Isaac Mukasa

Kumukolo gwegumu okwategekeddwa ku Lazio restaurant e Kololo, Tiimu yabavuzi ba motoka zempaka eyakazibwa erya Mafu Mafu ekulemberwa Ponsiano Lwakataka namusomera map Paul Musaazi nabo baalondebwa nga abavuzi be motoka zempaka abaasinga mugwomusanvu era nga baavuga motoka yabwe Subaru Impreza N12B eyakazibwa eryamusota olwobuwanvu bwaayo.

Kungule eno baavuganyiza era nebawangula Hassan Alwi avuga ne Musa Nsubuga abavuga (Ford Fiesta Proto) nga abalala abavuganyiza ye Ronald Ssebuguzi avuga ne Anthony Ssebuguzi nga nabo bavuga (Ford Fiesta Proto).

Chuni nga afuna award ye

Mungeri yeemu omukugu mukukulembera nokutekateka omuzanyo gwomupiira Yusuf Kyuni Kyeyune yasimidwa nengule yobuwereza eya Lifetime Achievement award olwebyo byakolede omupiira omuli okugusamba, okutandikawo team zomupiira eziwerako omuli neya State House, okuzikulembera, okuwereza mukibiina ekifuga omupiira mugwanga saako nokubangula abakulembeze bomupiira omuli namukulembeze wa FUFA aliko Engineer Moses Magogo Hashim.

Engule zino zikoze kinene mukwongerawo okuvaganya mubazanyi abazanya emizanyo ejenjawulo mu Uganda.

languages image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *