Ssemakula akutte penalty ssatu nga Mengo S.S ewandula Namilyango College mu FUFA TV Cup

Spread the love

Mumupiira gwoluzanya lwa Ttiimu 32 ezisembayo oguzanyidwa olwaleero kulwokutaano nga 1 Ogwomunaana ku kisaawe Kya Mengo SS e Bukesa, Omukwasi wa goolo ya Mengo Senior School Cyrus Ssemakula yekoledde erinnya bwakutte penelti ssatu nayambako essomero lye okuwandula Namilyango College mu mpaka za FUFA TV Cup 2025.

Mululuzanya olwasooka omupiira gwagwa 0-0 eranga nemukudingana bwegubadde, Oluvanyuma lw’enzannya zombi, Mengo SS ewangudde 3-1 mu penelti.

Ssemakula yateebye penelti ya Mengo SS esoose, olwo n’agobereraako okukwata penelti ya Emmanuel Labu akubye omupiira gw’oku ttaka.

Wabula Mengo SS nayo efunyeemu ekyekango, omuzannyi Brian Lukajjo yakubye penelti ye ku mulabba, wabula nga tasiibye, Ssemakula akutte azeemu n’akwata penelti ya Mathias Kirunji owa Namilyango College.

Conrad Kamara akubye penelti ya Mengo ey’okusatu era n’ateeba, wabula omuzannyi wa Namilyango College Paul Ogwella akubye penelti eremeredde Ssemakula okujjamu waddenga ajikutteko.

Pius Ssegujja aze nakuba penelti ya Mengo ey’okuna nga ateeba goolo ey’okusimula penelti ey’okusatu, olwo Ssemukula n’afuuka omuzira nga ajjamu penelti ya David Agaba, olwa omupiira ne guggwa 3-1, abawagizi ba Mengo SS ko n’abayizi ne beyiwa mu kisaawe okujaguza obuwanguzi bwe batuuseko okutuuka ttiimu esoose okutuuka ku luzannya lwa Ttiimu e 16 ezisembayo.

Mu ddakiika ekyenda, Mengo SS yesinze okufuna emikisa eminji wabula nga ne Namilyango College nayo efunyeyooko emikisa emitonotono.

Oluvannyuma lw’obuwanguzi, omutendesi wa Mengo SS Shabaz Kintu ayogeddeko ku mupiira nga bwe gutambudde n’obuwanguzi bwe batuuseeko, “nebaza mukama Katonda olw’obuwanguzi bw’atuwadde, waddenga tufunye emikisa mingi gye tutakozesezza. Omukwasi wa ggoolo waffe ateddeyo omutindo ogw’enjawulo ku lwa Ttiimu, kati tugende Nmanndiika okwetegekera oluzannya oluddako era tulabe tutandika okuteeba emikisa gye tufuna kuba tusaana okuwangula emipiira nga teginatuuka mu peneti era abatwagaliza, abawagizi baffe mbasuubiza nti tugenda kwongera okutereeza.

Ye omukwasi wa ggoolo Ssemakula ategeezezza, “Tukoleddewamu nga Ttiimu okufuna obuwanguzi buno, okukwata peneti nakyewuliddemu nti ngenda kuzikwata era Katonda nazimpa nenzikwata, nga tugenda ku luzannya oluddako tugenda kukola buli kisoboka okulaba nga tuwangula ekikopo kino.”

Ye omutendesi wa Namilyango College Ronald Ssempijja “Kaka” yebazizza FUFA, bakamaabe n’abazannyibe. “Tuzannye omupiira mulungi naye omukisa tegubadde gwaffe, wabula neebaza olw’omukisa gwe tuwadde okuvuganya mu FUFA TV Cup, ku mulundi guno omupiira gwaffe nga Namilyango College gweyongeddeko era neebaza bakama bange abatuwadde byonna bye twetaaga okukola omulimu, ku mulundi guno tusobodde okwengerako ne tutuuka ku round of 32 kati tuddayo kwongerako omwaka ogujja tutuuke ku mutendera ogusinga ku guno.”

Ye Captain wa Namilyango College Gareth Wanzu ayogedde bwati ku mupiira, “Ndi mumativu n’omulimu gwe tukoze kigaanye bugaanyi naye ba coach baffe, ffe abazannyi saako ne Management y’essomero buli omu akoze ky’osobola era omwaka ogujja batwerinde kuba kuluno mukisa gwegutujeemu.”

Oluzannya lwa Ttiimu 32 ezisembayo, lwakweyongera okutojjera olunaku lw’enkya ku Lwomukaaga nga 2 Ogwomunana era nga mujimu ku mipiira ejesungiddwa Kibuli SS yakukyaza Kololo ku Kibuli SS.

Saturday, 2
ND August 2025

Western Chapter
2 M58 Nganwa High School vs St. Charles Lwanga Kasasa 2:00PM
(agg 0-3)

Buganda Masaka
3 M59 Gombe SSS vs Kako SSS 11:00 AM agg 1-1)

Buganda Chapter
4 M60 St. Mary’s College Kisubi vs St. Balikudembe Mitala Maria 11:00AM (agg 1-1)

Kampala Chapter
5 M61 Kibuli SS vs Kololo SSS 11:00AM (agg 1-0)

Luo Chapter
6 M62 Lango College vs Aduku College 11:00 AM (agg 1-1)

Bukedi Chapter
7 M63 Ngora High School vs St. Peters College Tororo 11:00 AM (agg 1-0)

sports image

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *